Ettaka Eddungi Kye ki?

Okubuulira Enjiri ku ttaka eddungi n’Obutume bizimba abagoberezi ba Kristo okusobola okugabana olugero lwa Katonda olw’Essuubi mu nsi ey’okuvuganya mu nzikiriza n’obuwangwa. Tukola ne tugabana ebikozesebwa mu buweereza eby’esigamiziddwa ku kubuulira Enjiri ekwata ku Katonda nga bwe kulambikiddwa mu Byawandiikibwa n’obuyigirizwa. Ettaka eddungi E & D linnya eriva mu lugero olw’ensigo nebika bye ttaka. Ensigo bwe bubaka obw’Enjiri. Naye Yesu yannyonyola atya “ettaka eddungi”? Matayo, Makko, ne Lukka bawandiika ebigamba bisatu eby’enjawulo Yesu bye yakozesa okunnyonyola “ettaka eddungi.”

Nsobola ntya okuyamba omuntu atakkiriza okutegeera obulungi enjiri

Nga twanjula enjiri eri omuntu atakkiriza amanyi ekitono oba obutamanyira ddala bikwata ku Baibuli n’Okukkiriza Okukristaayo, ki9soboka okuba nti engeri gyalabamu ensi kati eyisa okumuleetera obutamanya bulungi ebigamba oba endowooza ebikozesebwa. Okusobola okuyingira mu “nsi eyo erimu okuwiggana” mu mbeera ey’okubuulira enjiri, kyamugaso okunnyonyola Ebyawandiikibwa ebyetaagisa okutegeera enjiri. Naye ebyawandiikibwa ebyo okubeera nga bitegeerekeka bulungi, twetaaga nkubitegeka mu ngeri ey’ebyafaayo ebikwata ku lugero lw’obununuzi olulabikira mu Baibuli.

Olugero Olw’essuubi kye kimu ku bikozesebwa mu budde bwonna obubaawo (obutono oba obuwanvu) okwanjula olugero lwa Baibuli olunene olw’obununuzi mu ddakiika nga kkumi na ttaano zokka oba okutuukira ddala ku ddakiika abiri oba essaawa ezisingawo. Kiwandiikiddwa okuyiga Baibuli okw’okubuulira enjiri, muntu ku muntu, oba bibiina ebitono, naye era kigasa okuyigiriza entegeka ya Katonda ey’obulokozi eri abakkiriza. Kirimu okuyiga ku bintu ebyaliwo m Baibuli 40 (20 mu Ndagaano Enkadde 20 mu Ndagaano Empya) ne maapu z’omu Baibuli.

Nsobola ntya okuyamba omukkiriza omuggya okwenywereza ku njiri?

Nga okubuulira enjiri bwe kukolebwa katonda n’omuntu, n’obuyigirizwa bwe butyo. Qabakkiriza abamazima banywerera m kukkiriza nga abayigirizwa ba Yesu Kristo kubanga Katonda abakuuma. Naye, era kituufu nti Katonda yasqalawo okutukozesa “Okufuula abayigirizwa.”

Ekkubo Eritutuusa mu Ssanyu ke katabo akakulu akakulembera mu kulondoola omukkiriza omuggya okuyita mu masomo kkumi ag’omugaso, nga gogera ku ntegeka ya Katonda ey’obununuzi, olutindo olutuusa mu bulamu, obukuumi n’obukakafu, Baibuli, okusaba, OMwoyo Omutulkuvu, obutuukirivu obwqa ssekinnoomu, okujulira, ekkanisa ey’omu kitundu ne ntegeka ya Katonda eri obulamu bw’omukkiriza. Buli katabo kalimu kkadi eziriko ennyiriri za Baibuli ez’okujjukira nentegeka ey’okusoma essuula emu buli lunaku.

Akatabo akalimu eby’okuyiga bya Baibuliu ebisookerwakoebirungamizibwa omukulembeze, akagendererwa okukozesebwa okusinga mu kulondoola emisomo egy’obuyigirizwa mu kubuulira enjiri. Kagendereddwa okukozesebwa mu masomo eg’obuyigirizwa ag’omu kw’omu. Wabula, era kasobola okukozesebwa mu mbeera ey’obubiina obutono oba nga akatabo akayigirwamu mu bibiina byabakkiriza abakakyuka. Kalimun amasomo kkumi ne kaadi eziriko ennyiriri za Baibuli ez’okujjukira ezikozesebwa ku masomo.

Luganda Cover jpg

Join Our Mailing List

Get notices for new products, resources, and training events.

Set your country and language

We will add support for new countries and languages in the future.